Jeremiah 52:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kibuga yatwalamu omugabe omu eyali omukulu w'abatabaazi, abasajja musanvu mikwano gya kabaka be yasangiriza mu kibuga, n'omuwandiisi w'omukulu w'eggye eyawandiisanga abayingira eggye ly'eggwanga, n'abasajja nkaaga ab'eggye ly'eggwanga abaali basangiddwa mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abaali bakyali mu kibuga, n’atwalako omukungu akulira eggye, n’abawi b’amagezi omusanvu. N’atwala n’omuwandiisi eyali omukungu omukulu avunaanyizibwa okuwandiika abayingira mu magye ne basajja be nkaaga abaasangibwa mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'aggya mu kibuga omukungu eyali aduumira abasajja abalwanyi; n'abasajja musanvu ku abo abaawanga kabaka amagezi, abaali bakyali mu kibuga; n'omuwandiisi ow'omukulu w'eggye, eyawandiikanga abantu mu ggye; n'abasajja nkaaga (60) ab'oku bantu ab'omu nsi abaasangibwa wakati mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aggya mu kibuga omukungu eyali aduumira abaserikale, n'abasajja musanvu abaawanga kabaka amagezi, abaali bakyali mu kibuga, n'oyo addirira omuduumizi w'eggye, eyawandiikanga abantu mu ggye, n'abakungu abalala nkaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'aggya mu kibuga omwami eyatwalanga abasajja abalwanyi; n'abasajja musanvu ku abo abaalabanga amaaso ga kabaka, abaalabika mu kibuga; n'omuwandiisi ow'omukulu w'eggye eyayolesanga abantu ab'omu nsi; n'abasajja nkaaga ab'oku bantu ab'omu nsi abaalabika mu kibuga wakati.