Jeremiah 52:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka w'e Babiloni n'abakuba n'abattira mu Ribula mu nsi y'e Kamati. Bw'atyo Yuda n'aggyibwa mu nsi ye n'awaŋŋangusibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’abattira eyo e Libuna, mu Kamasi. Bw’atyo Yuda n’awaŋŋangusibwa, okuva mu nsi ya boobwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'e Babbulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu kitundu kye Kamasi. Awo Yuda, n'atwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mu kitundu ky'e Hamati. Kabaka wa Babilooniya n'abakuba n'abattira eyo. Bwe batyo abantu b'omu Buyudaaya ne baggyibwa mu nsi yaabwe, ne batwalibwa mu busibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka w'e Babulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi ey'e Kamasi. Awo Yuda n'atwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.