Jeremiah 52:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be bantu Nebukadurezzari be yawaŋŋangusa: mu mwaka ogwomusanvu Abayudaaya enkumi ssatu mu abiri mu basatu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buno bwe bungi bw’abantu Nebukadduneeza be yatwala mu buwaŋŋanguse: mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwe: Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Guno gwe muwendo gw'abantu Nebukadduneeza be yatwala mu busibe, mu mwaka gwe ogw'omusanvu nga ye kabaka, yatwala Abayudaaya enkumi ssatu mu abiri mu basatu (3,023).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be bantu Nebukadunezzari be yatwala mu busibe: mu mwaka gwe ogw'omusanvu nga ye kabaka, yatwala Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bano be bantu Nebukadduleeza be yatwala nga basibe: mu mwaka ogw'omusanvu Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu: