Jeremiah 52:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Nebukadurezzari abantu abaggyibwa mu Yeruzaalemu baali lunaana mu asatu mu babiri;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mu mwaka ogw’omunaana ogwa Nebukadduneeza, n’atwala lunaana mu asatu mu babiri okuva e Yerusaalemi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka gwa Nebukadduneeza ogw'ekkumi n'omunaana, nga ye kabaka, n'atwala abantu lunaana mu asatu mu babiri (832) nga basibe okubaggya e Yerusaalemi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka gwe ogw'ekkumi n'omunaana yatwala abasibe lunaana mu amakumi asatu mu babiri, ng'abaggya mu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu mwaka gwa Nebukadduleeza ogw'ekkumi n'omunaana n'atwala nga basibe okubaggya e Yerusaalemi abantu lunaana mu amakumi asatu mu babiri: