Jeremiah 52:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino byonna byagwira Yeruzaalemu ne Yuda olw'obusungu bwa Katonda, obwamuleetera okubagoba mu maaso ge. Kati nno Zedekiya yagenda n'ajeemera kabaka w'e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabe ba Yerusaalemi ne Yuda ne babalumba kubanga Mukama yali abanyiigidde. Ku nkomerero n’abagobamu mu nsi. Ebyo byonna ne bituuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, Mukama n’okubagoba n’abagoba mu maaso ge, ne Zeddekiya n’ajeemera kabaka w’e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima olw'obusungu bwa Mukama, ebigambo n'ebituukirira ku Yerusaalemi ne Yuda, bw'atyo n'abagoba mu maaso ge, era ne Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'asunguwalira nnyo ab'omu Yerusaalemu, n'ab'omu Buyudaaya, era n'abagoba mu maaso ge. Zeddeekiya n'ajeemera Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyatuukirira olw'obusungu bwa Mukama mu Yerusaalemi ne Yuda okutuusa lwe yamala okubasuula okuva mu maaso ge: era Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babulooni.