Jeremiah 52:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu mwaka ogw'abiri mu esatu ogwa Nebukadurezzari, Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka yatwala Abayudaaya lusanvu mu ana mu bataano. Bonna wamu be bantu enkumi nnya mu lukaaga. Yoyakini addirwamu
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mu mwaka gwe ogw’amakumi abiri mu esatu, Abayudaaya lusanvu mu ana mu bataano be baatwalibwa Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi wa kabaka. Bonna awamu ne baba abantu enkumi nnya mu lukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mu mwaka gwa Nebukadduneeza ogw'abiri mu esatu (23), Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala ku Bayudaaya, abantu lusanvu mu ana mu bataano (745), nga basibe; abantu bonna abatwalibwa baali enkumi nnya mu lukaaga (4,600).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu ogw'obufuzi bwa Nebukadunezzari, Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye yatwala abasibe lusanvu mu amakumi ana mu bataano. Abantu bonna abaatwalibwa baawera enkumi nnya mu lukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu mwaka gwa Nebukadduleeza ogw'amakumi abiri mu esatu Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala nga basibe ku Bayudaaya abantu lusanvu mu amakumi ana mu bataano: abantu bonna baali enkumi nnya mu lukaaga.