Jeremiah 52:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu ogw'okuwaŋŋangusibwa kwa Yoyakini kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, ku lunaku olwabiri mu olumu, Evili-Merodaki kabaka w'e Babiloni, mu mwaka ogusooka ogw'obwakabaka bwe, yakwatirwa ekisa Yoyakini kabaka wa Yuda n'amusumulula mu kkomera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogw’okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwaka Evirumerodaki lwe yafuuka kabaka w’e Babulooni, n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda, n’amuggya mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'asatu mu omusanvu (37) ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini, kabaka wa Yuda, mu mwezi ogwe kkumi n'ebiri (12) ku lunaku olw'abiri mu etaano (25); Evirumerodaaki kabaka w'e Babbulooni, mu mwaka ogwo gwe yafuukiramu kabaka, nnaakwatirwa Yekoyakini kabaka wa Yuda ekisa, n'amuggya mu kkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwo Evilumerodaaki gwe yafuukiramu kabaka, n'akwatirwa ekisa Kabaka Yehoyakiini owa Buyudaaya, n'amuggya mu kkomera. Lwali lunaku olw'amakumi abiri mu ettaano olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, nga Yehoyakiini atwaliddwa mu buwaŋŋanguse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'amakumi abiri mu ttaano Evirumerodaaki kabaka w'e Babulooni mu mwaka ogw'olubereberye ogw'okufuga kwe n'ayimusa omutwe gwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, n'amuggya mu kkomera;