Jeremiah 52:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyakini n'akyusa ebyambalo by'obusibe, era yaliiranga bulijjo ku mmeeza ya kabaka ebbanga lyonna ery'obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyakini n’akyusa okuva mu ngoye ez’ekkomera era obulamu bwe obusembayo n’aliranga ku mmeeza ya kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Yekoyakini n'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera, n'aliiranga emmere bulijjo ku lujjuliro lwa kabaka ennaku zonna ez'obulamu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Yehoyakiini n'akkirizibwa okuggyamu ebyambalo bye eby'obusibe, n'aliiranga ku lujjuliro lwa kabaka ennaku zonna ez'obulamu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera, n'aliiranga emmere bulijjo mu maaso ge ennaku zonna ez'obulamu bwe.