Jeremiah 52:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku kulabirirwa, yabwewanga ensako ye bulijjo okuva ewa kabaka wa Babiloni buli lunaku ebbanga lyonna ery'obulamu bwe okutuusa ku lunaku lwe yafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kabaka w’e Babulooni yawanga Yekoyakini ensako eya buli lunaku, obulamu bwe bwonna okutuusa lwe yafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku by'okumulabiriranga kabaka w'e Babbulooni n'awa kabaka Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku kw'ebyo bye yeetaaga, ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu, okutuusa ku lunaku lwe yafiirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu, yaweebwanga omugabo gw'ebintu bye yeetaaga buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okumuliisanga kabaka w'e Babulooni n'amusalira ebyenkalakkalira, omugabo ogw'oku buli lunaku okutuusa ku lunaku kwe yafiira, ennaku zonna ez'obulamu bwe.