Jeremiah 52:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lwomwenda olw'omwezi ogwokuna enjala mu kibuga n'ekanya, abantu mu nsi nga tebakyalina kaakulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga nga tewaali kyakulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwezi ogwokuna ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi, enjala n'eba nnyingi mu kibuga, ne watabaawo mmere, eri abantu ab'omu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwokuna, mu mwaka ogwo, enjala n'eba nnyingi nnyo mu kibuga, ng'abantu tebakyalina ke balya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi enjala n'eba nnyingi mu kibuga, ne watabaawo mmere eri abantu ab'omu nsi.