Jeremiah 52:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bbugwe w'ekibuga ne bamubomola, abasajja bonna abatabaazi ne batoloka mu kibuga ekiro nga bayitira mu muzigo oguli wakati w'ebisenge ebibiri ng'olaga ku nnimiro ya kabaka, newandibadde nga Abakaludeya baali bakitaayizza, ne bakwata ekkubo eriraga mu Araba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bbugwe w’ekibuga yamenyebwa Abakaludaaya. Eggye lyonna erya Yerusaalemi ne lidduka okuva mu kibuga kiro nga bayita mu mulyango oguli wakati w’ebisenge ebibiri ebiri okumpi n’ennimiro lwa kabaka, newaakubadde ng’Abakaludaaya baali beetoolodde ekibuga. Badduka ne bagenda mu Alaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bakuba ekituli mu kisenge ky'ekibuga, abasajja bonna abalwanyi ne badduka ne bafuluma mu kibuga ekiro mu kkubo ery'omulyango wakati w'ebisenge ebibiri, ogwaliraana olusuku lwa kabaka; bo Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga enjuyi zonna. Abalwanyi ba kabaka Zeddekiya ne badduka nga bayita mu kkubo erya Alaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakuba ekituli mu kisenge ky'ekibuga. Newaakubadde ng'Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga, abaserikale bonna ne badduka ne bafuluma ekibuga ekiro, nga bayita mu kkubo ery'omu nnimiro ya kabaka, ne bafulumira mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, ne boolekera Ekiwonvu kya Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bawagula ekituli mu kibuga, abasajja bonna abalwanyi ne badduka ne bafuluma mu kibuga ekiro mu kkubo ery'omulyango wakati mu babbugwe ababiri, ogwaliraana olusuku lwa kabaka; (era Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga) enjuyi zonna ne bayita mu kkubo erya Alaba.