Jeremiah 52:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggye ly'Abakaludeya ne liwondera kabaka ne limukwatira mu lusenyi lwa Yeriko, eggye lye lyonna ne limwabulira, ne libuna emiwabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggye ly’Abakaludaaya ne ligoba kabaka Zeddekiya ne bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko, Abaserikale be bonna ne bamuvaako ne basaasaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eggye ery'Abakaludaaya ne liwondera Kabaka, Zeddekiya ne limuyisiriza mu nsenyi ez'e Yeriko; eggye lye lyonna ne lisaasaana okumuvaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye eggye ly'Abakaludaaya ne liwondera Kabaka Zeddeekiya, ne limukwatira mu nsenyi ez'e Yeriko, eggye lye lyonna ne limwabulira, ne lisaasaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bagoberera kabaka Zeddekiya ne bamuyisiriza mu nsenyi ez'e Yeriko; eggye lyonna ne lisaasaana okumuvaako.