Jeremiah 52:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka ne bamuwamba, ne bamutwala ewa kabaka w'e Babiloni e Ribula mu nsi y'e Kamati, n'amusalira omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akwatibwa. Zeddekiya n’atwalibwa eri kabaka w’e Babulooni e Libuna mu nsi ey’e Kamasi; n’amusalira omusango ne gumusinga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bawamba kabaka, ne bamutwala eri kabaka w'e Babbulooni e Libula mu kitundu ky'e Kamasi; n'amusalira omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bakwata Zeddeekiya, ne bamutwala eri Kabaka Nebukadunezzari e Ribula mu kitundu ky'e Hamati, n'amusalira omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bawamba kabaka, ne bamwambusa eri kabaka w'e Babulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi; n'amusalira omusango.