Jeremiah 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mudduke mwewonye, mmwe abantu ba Benyamiini; muve mu Yeruzaalemu. Mufuuwe eŋŋombe e Tekowa; musimbe ebendera e Beti-a-Keremu. Kubanga akabi kabindabinda okuva emambuka, akabenje ddekabusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini! Mmudduke muve mu Yerusaalemi. Fuuwa ekkondeere mu Tekowa, era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu: kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono, okuzikirira okw’entiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mudduke muwone, mwe abaana ba Benyamini, muve wakati mu Yerusaalemi, mufuuyire ekkondeere e Tekowa, muwanike akabonero ku Besukakkeremu, kubanga obubi buva e bukiikakkono, n'okuzikirira okunene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu ba Benyamiini, mudduke mwewonye. Muve mu Yerusaalemu. Mufuuyire eŋŋombe e Tekowa. Muwanike akabonero ku Beti Akkaremu, kubanga akabi n'okuzikirira binaatera okujja nga bisibuka mu bukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mudduke olw'okuwona, mmwe abaana ba Benyamini, muve wakati mu Yerusaalemi, mufuuyire ekkondeere e Tekowa, musimbe akabonero ku Besukakkeremu: kubanga obubi butunula nga buyima obukiika obwa kkono n'okuzikirira okunene.