Jeremiah 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani gwe mba ŋŋamba mmulabule? Ani anampuliriza? Laba, amatu gaabwe si matayirire; tebayinza kutegereza. Ekigambo ky'Omukama basekerera kisekerere; tebakisanyukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndyogera eri ani gwe ndirabula? Ani alimpuliriza? Amatu gaabwe gagaddwa ne batasobola kuwulira. Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali, tebakisanyukira n’akamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani gwe mba njogera naye, era gwe nnalabula, alyoke awulire? Laba amatu gaabwe gagaddwa, era tebayinza kuwuliriza; laba, ekigambo kya Mukama kifuuse gye bali ekivume; tebakisanyukira n'akamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: “Ani anampuliriza bwe nnaayogera okubalabula? Bakakanyavu ba mitima, era tebayinza kuwuliriza. Basekerera by'ontuma okubategeeza, tebabisanyukira n'akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani gwe mba njogera naye ne mba omujulirwa, balyoke bawulire? laba, okutu kwabwe si kukomole, so tebayinza kuwuliriza: laba, ekigambo kya Mukama kifuuse gye bali ekivume; tebakisanyukira n'akamu.