Jeremiah 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nze nzijudde obuswandi bw'Omukama. Sikyasobola kubuzibiikiriza. “Bumalire ku baana mu nguudo, ne ku bavubuka abakuŋŋaanye; bombi omusajja ne mukazi we balitwalibwa, abakadde n'abo abazeeyuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenva nzijula ekiruyi sikyasobola kukizibiikiriza. “Kiyiwe ku baana abali mu luguudo, ne ku bavubuka abakuŋŋaanye; abaami awamu n’abakazi n’abakadde abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenvudde njijula ekiruyi kya Mukama; nkooye okukizibiikiriza. “Ekiruyi kiyiwe ku baana abato mu luguudo, wamu ne ku bavubuka abakkuŋŋaanye. Bombi omusajja ne mukazi we balitwalibwa, omukulu n'omukadde ennyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenvudde nzijula obusungu ng'obubwo. Ayi Mukama, sikyayinza kubuzibiikiriza!” Mukama n'aŋŋamba nti: “Obusungu obwo buyiwe ku baana abato mu nguudo, ne ku bavubuka abakuŋŋaanye. Abasajja ne bakazi baabwe balitwalibwa, abakulu n'abakadde ennyo tebalirekebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenvudde njijula ekiruyi kya Mukama; nkooye okuzibiikiriza: kiyiwe ku baana abato mu luguudo ne ku kkuŋŋaaniro ly'abavubuka wamu: kubanga ne bba wamu n'omukazi alikwatibwa, omukadde wamu n'oyo awezezza ennaku ennyingi.