Jeremiah 6:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amayumba gaabwe galigabirwa balala, wamu n'ennimiro zaabwe ne bakazi baabwe. Sirimba, nzija kugololera omukono gwange ku bantu b'ensi eno,” Omukama y'agamba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enju zaabwe ziritwalibwa abalala, n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe; kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ennyumba zaabwe zirifuuka za balala, ennimiro zaabwe n'abakazi baabwe wamu: kubanga ndigolola omukono gwange, ne mbonereza bonna abali mu nsi, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyumba zaabwe zirifuuka za balala, n'ennimiro zaabwe bwe zityo, era ne bakazi baabwe, bwe ndibonereza abantu b'omu ggwanga lino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ennyumba zaabwe zirifuuka za balala, ennimiro zaabwe n'abakazi baabwe wamu: kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi, bw'ayogera Mukama.