Jeremiah 6:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu, bonna balulunkanira kufuna; abalanzi ne bakabona okwo, bonna balimbalimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu, buli omu alulunkanira kufuna. Nnabbi ne kabona bonna boogera eby’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga okuva ku muto mu bo okutuuka ku mukulu mu bo buli muntu wa mululu; era okuva ku nnabbi okutuuka ku kabona buli muntu alyazaamaanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekyo kiriba bwe kityo kubanga bonna, abakulu n'abato, balulunkanira bya kufuna. Wadde abalanzi ne bakabona, nabo balyazaamaanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okuva ku muto mu bo okutuuka ku mukulu mu bo buli muntu wa mululu; era okuva ku nnabbi okutuuka ku kabona buli muntu alyazaamaanya.