Jeremiah 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiwundu by'abantu bange babinyigisa lusaago; beewoleza: ‘Ddembe, ddembe!’ sso nga tewali ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiwundu ky’abantu bange bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi. Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’ So nga tewali mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bawonyezza ekiwundu ky'abantu bange kungulu kwokka, nga boogera nti, ‘Mirembe, mirembe;’ so nga emirembe tewali
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiwundu by'abantu bange babijjanjabye ne biwona kungulu kwokka, ne bagamba nti: ‘Byonna biri bulungi,’ sso nga tebiri bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bawonyezza ekiwundu ky'abantu bange kungulu kwokka, nga boogera nti Mirembe, mirembe; so emirembe nga tewali.