Jeremiah 6:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baswala olw'ebikolwa byabwe ebyenyinyalwa? Nedda, tebaliimu nsonyi. Tebamanyi na kusonyiwala; kyebaliva bagwira mu abo abaligwa; balimeggebwa ku olwo lwe ndibabonereza,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo? Nedda. Tebakwatibwa nsonyi n’akatono. Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa; balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baakwatibwa ensonyi bwe baakola eby'emizizo? Nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaamanya na kuswala. N'olwekyo kyebaliva bagwira mu abo abagwa; mu kiseera kye ndibabonerezaamu, mmwe balisiguukululirwa;” bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baakwatibwa nno ensonyi bwe baamala okukola ebyenyinyalwa? Nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono. Tebamanyi na kiyitibwa kusonyiwala. Kyebaliva bagwa ng'abalala bwe baagwa. Mu kiseera kye ndibonererezaamu, balisiguukululwa. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eby'emizizo? nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaayinza kumyusa amaaso: kyebaliva bagwira mu abo abagwa: mu kiseera mwe ndibajjirira mwe balisuulirwa, bw'ayogera Mukama.