Jeremiah 6:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Muyimirire mu masaŋŋanzira mulabe; mwebuuze amakubo ag'edda; mubuuze ekkubo eddungi gye liri; lye muba nno mukwata, olwo mulyezuulira ekiwummulo. Bo ne bagamba nti: ‘Tetujja kulikwata.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino Mukama ky’agamba nti, “Yimirira mu masaŋŋanzira otunule. Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri, era otambulire omwo, emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo. Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag'edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo. Naye ne boogera nti, ‘Tetuutambulire omwo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba abantu be nti: “Muyimirire ku mabbali g'amakubo ne mu masaŋŋanzira, mulabe. Mubuuze awali amakubo ag'edda, n'oluguudo olulungi gye luli. Mutambulire omwo, mulyoke mufune emirembe mu myoyo gyammwe.” Naye bo ne bagamba nti: “Tetujja kutambulira omwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag'edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo: naye ne boogera nti Tetuutambulire omwo.