Jeremiah 6:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe ensi, wulira: Nzija kuleetera abantu abo akabenje; ge magoba g'ebirowoozo byabwe; kubanga tebaategereza bigambo byange, n'etteeka lyange baalisambajja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wuliriza, ggwe ensi: laba, ndeeta akabi ku bantu bano, by’ebibala by’enkwe zaabwe, kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange n’etteeka lyange baligaanye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wulira, ggwe ensi; laba, ndireeta akabi ku bantu bano, bye bibala by'ebirowoozo byabwe, kubanga tebawulirizza bigambo byange; n'amateeka gange bagagaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wulira ggwe ensi. Nja kukola akabi ku bantu bano, olw'ebyo bye balowooza, kubanga tebatadde mwoyo ku bye mbagamba, n'amateeka gange bagagaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wulira, ggwe ensi: laba, nditeeta akabi ku bantu bano, bye bibala by'ebirowoozo byabwe, kubanga tebawulidde bigambo byange; n'amateeka gange bagagaanyi.