Jeremiah 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulungi Kabirinnage, Muwala wa Siyoni, nzija kumuzikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni, omulungi oyo omubalagavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukkakkamu era eyakuzibwa n'obwegendereza, ndizikiriza omuwala wa Sayuuni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndizikiriza Siyooni ekibuga ekirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo omulungi omwekanasi, omuwala wa Sayuuni, ndimuzikiriza.