Jeremiah 6:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kyava ayogera bino nti: “Laba, abantu bano nzija kubateera enkonge mu kkubo: bakitaabwe b'abaana n'abaana balizeesittalako; ab'emiriraano n'ab'emikwano balizikirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano; bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko. Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti,‘ Laba, nditeeka mu maaso g'abantu bano, enkonge ze bannesittalako; bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, muliraanwa n'owo mukwano balizikirira.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo nditeeka enkonge mu maaso g'abantu bano, ze balyekoonako ne bagwa. Bakitaabwe ne batabani baabwe, awamu ne mikwano gyabwe ne baliraanwa baabwe, balizikirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nditeeka enkonge mu maaso g'abantu bano: ne bakitaabwe ne batabani baabwe wamu balizeesittalako; muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.