Jeremiah 6:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Abantu baabo bava mu nsi ey'emambuka; eggwanga eddene likungiddwa okuva ku nkingi z'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti, “Laba, eggye lijja eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono, eggwanga ery’amaanyi liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Laba, waliwo eggwanga eriva mu nsi ey'obukiikakkono, era eggwanga ekkulu liriyimuka okuva ku nkomerero z'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Waliwo abantu abajja, nga bava mu nsi ey'omu bukiikakkono, eggwanga ekkulu eriva ewala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, waliwo eggwanga eriva mu nsi ey'obukiika obwa kkono, era eggwanga ekkulu liriyimuka okuva ku nkomerero z'ensi.