Jeremiah 6:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe bantu bange, mwesibe ebisuna, mwevulunge mu vvu, mukungubage ng'akungubagira omutabani eyazaalibwa omu, mulage okunyolwa, kubanga azikiriza ajja kutuzinduukiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno mmwe abantu, mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu; mukungubage ng’abakaabira omwana owoobulenzi omu yekka. Kubanga oyo agenda okuzikiriza ajja kutugwako mavumbavumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi omuwala w'abantu bange, weesibe ebibukutu, weekulukuunye mu vvu; kungubaga ng'akungubagira mutabani we omu yekka, nga weesaasaabaga nnyo nnyini; kubanga omuzikiriza alitujjira nga tetumanyiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba abantu be nti: “Mwambale ebikutiya, mwekulukuunye mu vvu. Mukungubage nnyo nnyini, ng'akungubagira mutabani we omu yekka, kubanga oyo ajja okuzikiriza, alibagwako bugwi nga temumanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai omuwala w'abantu bange, weesibe ebibukutu, weekulukuunye mu vvu: kungubaga ng'akungubagira mutabani we omu yekka, nga weesaasaabaga nnyo nnyini; kubanga omunyazi alitujjira nga tetumanyiridde.