Jeremiah 6:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abajeemu, ba mputtu, bagenda bakonjera, bali kikomo na kyuma; bonna babi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna bakyewaggula abakakanyavu abagenda bawaayiriza, bikomo era kyuma, bonna boonoonefu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna bajeemu abatalabwa, era batambula nga bawaayiriza; bagumu nga ebikomo oba ebyuma; bonna bakola bikyamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna bajeemu, abakakanyavu, abakalubo, ng'ekikomo era ng'ekyuma. Bagenda nga bawaayiriza, era bonna bakola bikyamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna bajeemu abatalabwa, nga batambula nga bawaayiriza; bikomo era byuma: bonna bakola eby'obukyamu.