Jeremiah 6:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emivubo gifuuwa n'amaanyi, omuliro guseebengereze essasi; naye kusaanuusa kwa bwereere, ababi tebasengejjeddwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emivubo bagifukuta n’amaanyi, omuliro gumalawo essasi, naye balongoosereza bwereere kubanga ababi tebaggyibwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuliro gwaka nnyo mu kabiga, ekyuma ne kisaanuuka, naye ebiteetaagibwamu tebyesengejjamu, bateganira bwereere okulongoosa, kubanga ababi tebasimbulibwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuliro gwaka nnyo mu kabiga, ekyuma ne kisaanuuka, naye ebiteetaagibwamu tebyesengejjamu. Tekigasa kwongera okutukuza abantu bange, kubanga ababi tebaggyibwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emivubo gifuuwa n'amaanyi; omuliro gumalawo lisasi: beeyongerera bwereere okulongoosa; kubanga ababi tebasimbulibwawo.