Jeremiah 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwetegeke okumulwanyisa. Musituke; tumulumbe mu ttuntu. Kyokka tulabye, olunaku luuluno luggweekerera; ebisiikirize eby'akawungeezi biwanvuyirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwetegeke mumulwanyise! Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu! Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo, n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mwetegeke okulwana naye; muyimuke tulumbe mu ttuntu. Zitusanze! kubanga obudde bugenda, kubanga ebisiikirize eby'akawungeezi biwanvuwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baligamba nti: “Mwetegeke okukirumba. Musituke tukirumbe mu ttuntu.” Ate baligamba nti: “Obudde buyise, olunaku lunaatera okuggwaako. Ebisiikirize by'olweggulo biwanvuye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwetegeke okulwana naye; muyimuke tulinnye mu ttuntu. Zitusanze! kubanga obudde bukka, kubanga ebisiikirize eby'akawungeezi byenudde.