Jeremiah 6:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'oluzzi bwe luzza obuggya amazzi gaalwo, bw'azza atyo obuggya obugwagwa bwe; eby'obukambwe n'okwonoona bye biwulirwamu; buli kabanga ndaba ndwadde na biwundu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo, entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo. Obulwadde n’ebiwundu bye ndaba buli bbanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'amazzi bwe gakulukuta okuva mu luzzi, bwe kityo bwe kikulukuta obubi bwakyo; ekyejo n'okunyaga biwulirwa mu kyo; endwadde n'ebiwundu biba mu maaso gange bulijjo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'oluzzi bwe lubaamu amazzi gaalwo amalungi, nakyo bwe kityo bwe kikuuma ebibi byakyo: obukambwe n'okuzikirira bye mpulira mu kyo. Obulwadde n'ebiwundu bye ndaba bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'oluzzi bwe lukulukuta amazzi gaalwo, bwe kityo bwe kikulukuta obubi bwakyo: ekyejo n'okunyaga biwulirwa mu kyo; endwadde n'ebiwundu biba mu maaso gange bulijjo.