Jeremiah 6:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Mazima balikuŋŋaanya abaliba basigaddewo mu Yisirayeli kyenkana nga mu mizabbibu; yisaayisa omukono gwo mu matabi, ng'omunozi w'emizabbibu bw'akola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Balisusumbulira ddala n’abo abatono abaliba basigaddewo mu Isirayiri. Ddamu oyise omukono mu matabi ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Kungulira ddala ng'omuzabbibu abasigaddewo mu Isiraeri, ng'omunozi w'ezabbibu, zza nate omukono gwo mu matabi gaagwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Abasigaddewo mu Yisirayeli, balimalibwawo ng'ennimiro y'emizabbibu gye banozeemu buli kirimba. Kale ddamu okuwenja amatabi ng'omunozi w'emizabbibu bw'akola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti Baliyerera ddala abalisigala ku Isiraeri ng'omuzabbibu: zza nate omukono gwo ng'omunozi w'ezabbibu mu bibbo.