Jeremiah 7:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kazzi ennyumba eno okuli erinnya lyange ebafuukidde nfo y'abanyazi? Naye nno mbadde ntunula, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku y’abanyazi? Laba, nze kennyini nkirabye,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyumba eno etuumibwako erinnya lyange efuuse empuku y'abanyazi mu maaso gammwe? Laba, nze, nze mwene, nkirabye, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulowooza nti Essinzizo lyange lifuuse mpuku eyeekwekebwamu abanyazi? Nze nzennyini ndabye kye mukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennyumba eno etuumibwako erinnya lyange efuuse empuku y'abanyazi mu maaso gammwe? Laba, nze, nze mwene, nkirabye, bw'ayogera Mukama.