Jeremiah 7:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, kubanga mukoze ebintu ebyo byonna, Omukama y'agamba, era nga ne bwe nabagamba buli olukedde temwampulira, nga ne bwe nabakoowoola, temwannyanukula,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mwali mukola ebintu bino byonna, nayogera nammwe emirundi mingi naye ne mutampulira; nabakoowoola ne mutampitaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano kubanga mukoze ebikolwa ebyo byonna, bw'ayogera Mukama, ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera, naye ne mutawulira; ne mbayita naye ne mutayitaba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukoze ebibi bino byonna nga mbalabula emirundi n'emirundi, ne mugaana okuwulira, ne mbayita naye ne mutayitaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano kubanga mukoze ebikolwa ebyo byonna, bw'ayogera Mukama; ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera, naye ne mutawulira; ne mbayita naye ne mutayitaba: