Jeremiah 7:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno ggwe tosabira bantu bano, yadde okuwanjaga n'okuweereza essaala ku lwabwe; tonneegayirira, kubanga sijja kukuwuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo tosabira bantu abo wadde okubegayiririra newaakubadde okubasabira oba okubawolereza, kubanga siikuwulire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale tosabiranga bantu bano, so tobayimusirizanga kukaaba kwabwe, newakubadde okusaba kwabwe, so tonneegayiriranga, kubanga siikuwulire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Ggwe Yeremiya, tosabira bantu bano. Tompanjagira wadde okunneegayirira ku lwabwe, kubanga sijja kukuwuliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale tosabiranga bantu bano so tobayimusizanga kukaaba newakubadde okusaba, so tonneegayiriranga okuwolereza, kubanga siikuwulire.