Jeremiah 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, n'abakazi ne bagoya obutta okufumbira Nnaabakyala w'Eggulu obugaati; baweereza balubaale ebitone eby'okuyiwa, balyoke bannyiize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka w’eggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta, okufumbira kabaka w'eggulu omukazi emigaati, n'okufukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa balyoke bansosonkereze okusunguwaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta, okufumba emigaati nga bagifumbira lubaale gwe bayita Nnaabakyala w'Eggulu. Era bafukira balubaale abalala ebyokunywa ebiweebwayo, okunsoomooza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta okufumbira kabaka w'eggulu omukazi emigaati, n'okufukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa balyoke bansunguwaze.