Jeremiah 7:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yimirira mu mulyango gw'ennyumba y'Omukama, olangiririreyo ebigambo bino nti: ‘Muwulire ekigambo ky'Omukama, mwenna abantu ba Yuda abayita mu miryango gino okusinza Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Mukama otegeeze abantu obubaka buno. Muwuliriza ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda abayita mu miryango gino okusinza Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yimirira mu mulyango gw'ennyumba ya Mukama, olangiririre eyo ekigambo kino, oyogere nti, Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda, abayingira mu miryango gino okusinza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yimirira mu mulyango gw'Essinzizo, otegeeze abantu, obagambe nti: ‘Muwulire mmwe mwenna ab'omu Buyudaaya, abayingirira mu miryango gino okusinza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yimirira mu mulyango gw'ennyumba ya Mukama, olangirire eyo ekigambo kino, oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda, abayingira mu miryango gino okusinza Mukama.