Jeremiah 7:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda kyava agamba kino nti: ‘Obusungu bwange n'obuswandi bijja kwebundula ku kifo kino, ku bantu ne ku bisolo, ku miti gy'ettale ne ku bibala by'ettaka; bugenda kubuubuuka, awataliba na kuzikirizibwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Laba, obusungu bwange n'ekiruyi kyange kirifukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo ne ku miti egy'omu ttale ne ku bibala eby'ettaka; era bulibuubuuka so tebulizikizibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo Nze Mukama Katonda, ndiyiwa obusungu bwange n'ekiruyi kyange ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ne ku miti era ne ku bibala. Era obusungu bwange bulibuubuuka, nga tewali ayinza kubuziyiza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, obusungu bwange n'ekiruyi kyange birifukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo ne ku miti egy'omu ttale ne ku bibala eby'ettaka; era bulibuubuuka so te bulizikizibwa.