Jeremiah 7:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kino Omukama w'Amagye Katonda wa Yisirayeli ky'agamba, ‘Mwongere ebitambiro ebyokye ku byonziira byammwe, n'ennyama mugirye mwennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, “Mwongere bye muwaayo ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, mulye ennyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye era Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Ebitambiro byammwe ebyokebwa nabyo mubyongere ku bitambiro byammwe ebirala, mulye ennyama yonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Mwongere bye muwaayo ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, mulye ennyama.