Jeremiah 7:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bajjajjammwe bwe nabaggya mu nsi y'e Misiri, sibagambanga era sibalagiranga kantu ku bitambiro ebyokye ne ku bitambiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri, ssaayogera ne bajjajjammwe era n'okubalagira eby'ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga bwe naggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri, saabawa biragiro bikwata ku biweebwayo ebyokebwa, ne ku bitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga saayogera ne baajjammwe so saabalagira ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri eby'ebiweebwayo ebyokebwa newakubadde ssaddaaka: