Jeremiah 7:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wazira kino kye kiragiro kye nabawa nti: “Muwulire eddoboozi lyange, lwe ndibeera Katonda wammwe, nammwe mulibeera bantu bange. Mutambulirenga mu kkubo lyonna lye ndiba mbalagidde, mulyoke mubeere bulungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kino kye nnabalagira nti, ‘Muwulirenga eddoboozi lyange, nange n'abanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange; era mutambulirenga mu kkubo lye mbalagira, mulyoke mube bulungi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nabalagira kino nti: ‘Mumpulirenga. Nze nnaabanga Katonda wammwe, mmwe munaabanga bantu bange. Mukolerenga ku byonna bye mbalagira, mulyoke mube bulungi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ekigambo kino kye nnabaagira nti Muwulirenga eddoboozi lyange, nange naabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange: era mutambulirenga nu kkubo lye mbalagira, mulyoke mube bulungi.