Jeremiah 7:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo tebaawulira, yadde okutega okutu, wabula mu bukakanyavu bwabwe baagoberera mutima gwabwe omubi gye gwewunzikidde; badda mabega, si mu maaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kw’emitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi, ne badda emabega so tebeeyongera mu maaso.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne batawulira, era ne batassaayo mwoyo, wabula ne bagoberera amagezi gaabwe, era ne bakola ebyo emitima gyabwe emikakanyavu era emibi bye gyayagala. Mu kifo ky'okugenda mu maaso, ne badda emabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi, ne badda ennyuma so tebeeyongera mu maaso.