Jeremiah 7:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ku lunaku bajjajjaabwe lwe baava mu nsi y'e Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero, sitadde kubatumira buli olukedde baweereza bange abalanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi n’emirundi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva ku lunaku bajjajjammwe kwe baaviira mu nsi ey'e Misiri ne leero, n'abatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka mu makya ne mbatuma;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuviira ddala ku lunaku bajjajjammwe lwe baaviirako mu nsi y'e Misiri n'okutuusa kati, mbadde sirekaayo kutuma gye muli abaweereza bange abalanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva ku lunaku bajjajjammwe kwe baaviira mu nsi ey'e Misiri ne leero, nabatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka mu makya ne mbatuma: