Jeremiah 7:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye tebampulira, tebaafaayo, wabula baakakanyaza ensingo zaabwe ne boonoona n'okukira bajjajjaabwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era naye ne batampulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne baakola obubi okusinga bajjajjaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne mutawulira, era ne mutassaayo mwoyo. Ne mukakanyaza emitima gyammwe, era ne mukola ebibi okusinga bajjajjammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era naye ne batampulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe: baakola obubi okukira bajjajjaabwe.