Jeremiah 7:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno bagambe nti: ‘Lino lye ggwanga eritawulira ddoboozi lya Mukama Katonda waalyo, eritakkiriza na kugololwa. Amazima gafudde, gabuze mu kamwa kaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olibagamba nti,‘ Lino lye ggwanga eritawulidde ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, so tebakkirizza kuyigirizibwa; amazima gafudde, gazikiridde okuva mu kamwa kaabwe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olibagamba nti eggwanga lyabwe terimpulira Nze Mukama Katonda waalyo, era tebakkiriza kuyigirizibwa. Amazima gazikiridde. Tebakyayagala wadde okugoogerako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era obagambanga nti Lino lye ggwanga eritawulidde ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, so tebakkirizza kuyigirizibwa: amazima gafudde, gazikiridde okuva mu kamwa kaabwe.