Jeremiah 7:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Sala enviiri zo ozikasuke eri, waggulu ku busozi obwereere oteme emiranga, kubanga Omukama abodde n'asuula ezzadde ly'asunguwalidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko z’ensozi, kubanga Mukama alese abantu be era n’asuula ab’omu mulembe guno mw’asunguwalidde ennyo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sala enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala, otanule okukungubagira ku ntiko ze nsozi; kubanga Mukama asudde abantu ab'omu mirembe olw'obusungu bwe, era abaleseeyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe ab'omu Yerusaalemu, musaleeko enviiri zammwe, muzisuule wala. Mutandike okukungubagira ku ntikko z'ensozi, kubanga Nze Mukama nsunguwadde, era nsudde abantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sala enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala, otanule okukungubagira ku nsozi ez'obweru; kubanga Mukama asudde abantu ab'omu mirembe egy'obusungu bwe, abaleseeyo.