Jeremiah 7:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: Mugolole empisa zammwe n'ebikolwa byammwe, lwe ndibaleka ne mukkalira mu kifo kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, nange ndibaleka okutuula mu kifo kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti mulongoose empisa zammwe n'ebikolwa byammwe. Bwe mulikola bwe mutyo, alibaleka ne mubeera mu kifo kino.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibatuuza mu kifo kino.