Jeremiah 7:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Mazima abantu ba Yuda bakoze ekibi mu maaso gange,’ Omukama y'agamba. ‘Batadde ebyenyinyalwa mu nnyumba okuli erinnya lyange, ne bagijaajaamya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu ba Yuda bakoze ekintu eky’ekivve mu maaso gange, bw’ayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga abaana ba Yuda bakoze ebiri mu maaso gange ebibi, bw'ayogera Mukama, batadde emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugyonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Buyudaaya bakoze ebibi mu maaso gange. Baddidde balubaale be nkyawa, ne babateeka mu Ssinzizo lyange ne balyonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaana ba Yuda bakoze ebiri mu maaso gange ebibi, bw'ayogera Mukama: batadde emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugyonoona.