Jeremiah 7:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ziizo ennaku zijja, Omukama y'ayogera, lwe baliba nga tebakyagamba nti Tofeti, oba nti Ekiwonvu Beni-Yinnomu, wabula nti Ekiwonvu ky'Ettambiro, kubanga mu Tofeti mwe baliziika abafu olw'okubulwa ekifo awalala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe kitaliyitibwa nate nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nti Kiwonvu kya ttambiro; kubanga baliziika mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ebiseera bijja kutuuka, nga tekikyayitibwa Tofeti oba Ekiwonvu kya mutabani wa Hinnomu, naye Ekiwonvu ky'Ettambiro, kubanga balikiziikamu abafu, okutuusa nga tekikyalimu bbanga lya kuziikamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe kitaliyitibwa nate nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani Kinomu, wabula nti Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziika mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu.