Jeremiah 7:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emirambo gy'abantu girifuuka mmere ya binyonyi eby'omu bbanga n'ebisolo eby'ettale, era tebiribaako abiguŋŋumula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era emirambo gy’abantu bano gifuuke emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga era n’ensolo ez’omu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'emirambo gy'abantu bano giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko; so tewaliba alizisaggula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirambo gy'abantu giriba mmere ya binyonyi na ya bisolo eby'omu ttale, era tewaliba abigoba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emirambo gy'abantu bano giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsi; so tewaliba alizisaggula.