Jeremiah 7:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kwesiga bigambo bya bulimba nti: “Mbeera Kiggwa kya Mukama, Kiggwa kya Mukama, Kiggwa kya Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teweesiga bigambo bino ebibuzaabuza ne mwogera nti, ‘Eno ye yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temwesiganga bigambo bya bulimba nti, ‘Eno ye Yeekaalu ya Mukama, ye Yeekaalu ya Mukama, ye Yeekaalu ya Mukama.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleme kwesiga bigambo bino eby'obulimba ebiddiŋŋanibwa nti: ‘Tuli bulungi, Essinzizo lya Mukama weeriri, Essinzizo lya Mukama weeriri.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temwesiganga bigambo bya bulimba nti Bino ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama.